The Kabaka of Buganda Ronald Mwenda Mutebi has finally spoken to his people about his health and what he is doing.
He said that he is doing great and will be able to return to the country any time soon as he is now okay.
Kabaka has been having issues with his health and unfortunately it is blamed on people that work for him as they say that they are hiding him from the public.
They have been demanding for him for months now and it is time that he addressed his people and even told them that he is doing much better where he has been for months.
Obubaka bwa Ssaabasajja Kabaka bwawadde Abantube, ng’asinziira mu ggwanga lya Namibia.
“Mbalamusizza abantu baffe mwenna. Nze Ssaabasajja Kabaka nga nsinziira wano wetwajja okuwummulako nokujjanjjabibwa nga tugendera ku magezi g’abasawo nga bwegatuweebwa.
Tubadde tumaze akabanga nga tetubawulizaako nga tugoberera ebiragiro by’abasawo ebyatujja ku mirimu egisinga obungi.
Embeera y’obulamu bwaffe egenda etereera era tusuubira okudda ku butaka mu biseera ebitali bya wala nnyo. Twebaza Katonda atukuumye era nobuganda olwokutusabiranga bulijjo ate nobutaggwaamu ssuubi wakati mu kusomoozebwa okwamaanyi ddala.
Twebaza Katikkiro Baminisita n’abaami ba Kabaka bonna olwokusigala nga batambuza emirimu gyobwakabaka mu kiseera nga tetuli mu nsi. Ebigenda mu maaso byonna tubigoberera era twebaza Obuganda olwobujjumbize ku mirimu gyobwakabaka. Twebaza abantu baffe abagoberedde empisa, obuwangwa, ennono, nobulombolombo mu kiseera kino ekizibu ddala.
Nga bwetutera okwogera bulijjo amaanyi gaffe gali mu kwegatta, tukubiriza abantu baffe okusigala nga bali bumu”.
Mukama abakuume.
https://www.facebook.com/share/v/jP8geKGau515ayRT/?mibextid=WC7FNe